From Wikipedia, the free encyclopedia
Safina Namukwaya ye mukyala mu Africa eyasooka okuzaala ku myaka emikadde. Kino y'akifuna nga 29 Ogwekkuminogumu 2023 oluvanyuma lw'okuzaala abalongo (omulenzi n'omuwala) ku myaka 70 mu Uganda.[1][2][3][4][5][6][7][8]
Namukwaya abeera ku ky'alo Nunda, Lwabenge parish, me Ssaza lya Buyiisa ng'esangiibwa mu Disitulikiti y'e Kalungu.[9][10][11][12][13][14] Yafumbirwa ku myaka 15 mu 1973.[9] Olubuto lwe lw'avaamu nga lwa sabbiti 22.[9][10][15] Oluvanyuma lw'emyaka mwenda, Safina yafuna ekizibu ky'okuzibikira enseke wabula yafuna obujjanjabi ku Ddwaliro ekkulu erye Masaka.[9][10]
Safina yafumbirwa Badru Walusimbi mu 1996 oluvanyuma lw'okufa kwa bbaawe mu 1992.
Mu Gwomusanvu 2018, Namukwaya yakyalira eddwaliro lya Women's Hospital International and Fertility Center ng'eno gyekyazuulibwa nti enseke ze z'azibikira era n'aweebwa obujjanjabi.
Nga 9 Ogwekkuminogumu 2019, amagi ataano g'egatekebwa mu nnabaana ya Namukwaya era mu Gwekkuminogumu 2019 yagenda okukeberebwa ng'ali lubuto ng'olubuto yalufuna okuyita mu nkola y'okumugyamu amagi ne bagakuba enkwaso z'omusajja mu nkola eyitibwa In vitro fertilization (IVF). Yatandiika okufuna obubonero bw'olubuto nga obulwadde bw'okumakya.[9]
Nga 9 Ogwekkuminebiri 2019, eby'ava mu ka ttivi by'akakasa nti Namukwaya yalina olubuto lwa wiiki mukaaga.
Nga 20 Ogwokusatu 2020, Namukwaya yatandiika okunywa eddagala ng'olubuto luwezezza wiiki 19 ku Ddwaliro ly'e Masaka ekkulu okusinga okutindigga egendo okutuuka ku ddwaliro lya Women's Hospital International and Fertility Center kubanga ly'ali wala.
Namukwaya yazaala omwana muwala nga 25 Ogwomukaaga 2020[16][17][18] ku Ddwaliro ekkulu ely'e Masaka[19] nga tannaba kuzaala balongo beyalongosebwa mu ddwaliro lya Women's Hospital International and Fertility Center (WHI&FC) mu Kampala nga 29 Ogwekkuminogumu 2023 wakati w'essaawa 12:04pm ne 12:05pm ez'omutuntu.[10][20][21][8] Abaana bazaalibwa nga tebannatuuka (gestation period) mu wiiki 31 oluvanyuma ne batwalibwa mu byuma ebiyambako okukuza abaana ebya WHI&IF. [4][22][23] Yafuna olubuto ng'akozesa enkola ekiyitibwa In vitro fertilization.[24][25][26][22][27]
Mu myaka gya 1990, Safina yavaamu embuto eziwera era kino ky'amuviirako obutazaala.
Seamless Wikipedia browsing. On steroids.
Every time you click a link to Wikipedia, Wiktionary or Wikiquote in your browser's search results, it will show the modern Wikiwand interface.
Wikiwand extension is a five stars, simple, with minimum permission required to keep your browsing private, safe and transparent.