Brigadier Flavia Byekwaso, mujaasi mu maje ga Uganda. Ono yaliko omubaka mu palamenti ya Uganda eyekkumi(2016-2021) ng’akiikirira ejje lya Uganda erya Uganda People’s Defence Forces (UPDF). [1] Nga 1 Ogwomunaana 2020, Byekwaso yalondebwa okuba Omwogezi w’eggye lya UPDF, era nga yasikira Brigadier Richard Karemire, eyakyusibwa n’atwalibwa ku kitebe ky’omukago gwamawanga agali mu buvunjuba bwa Afirika ekiyitibwa East African Community ng’omukugu ku nsonga z'ebyokwerinda. [2] Ku ntandikwa y'omwaka 2022 Byekwaso yajjibwa ku kifo ky'omwogezi wa UPDF era n’asindikibwa okwongera okutendekebwa mu ttendekero lya Uganda National Defence College. [3]

Thumb
Brig. Gen Flavia Byekwaso

Oluvannyuma lw'okutendekebwa mu Gwokutaano 2023 yalondebwa okuba akulira abakozi mu kitongole kya Uganda Rapid Deployment Capability Center (URDCC), ekisangibwa mu nkambi yamaje eyitibwa Gaddafi Barracks, e Jinja, Uganda.

Ensibuko n’obuyigirize

Byekwaso yazalibwa nga 29 Ogwekkuminebiri 1971. Yasomera mu St. Mathias Kalemba Senior Secondary School, e Nazigo, mu Disitulikiti y’e Kayunga, mu misomo gye egya siniya.

Diguli ye eyasooka, Bachelor of Business Administration, yajisomera ku Makerere yunivasite, natikirwa mu 1996. Oluvannyuma mu 2012, yafuna diguli eyokubiri eya Master of Public Administration nga nayo yajisomera mu yunivasite y’e Makerere.

Byekwaso y'omu ku bayizi / bannamaje abasooka okusomera mu ttendekero lya Uganda National Defence College, mu mwaka 2022 n’atikkirwa mu 2023. [4]

Emirimu

Okusinziira ku bimukwatako ebiri ku mutimbagano gwa palamenti ya Uganda, Flavia Byekwaso yayingira amagye ga Uganda mu 2000, n’atandika nga protocol officer . oluvannyuma yaweereza nga military assistant, yavunaanyizibwako ku nzirukanya y'emirimu kwossa n'okuvunaanyizibwa ku ntambuza y'ebikozesebwa (logistics officer) . Wakati 2014 ne 2016 yeyali akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutambuza ebintu mu ggye lya Uganda People’s Defence Forces.

Mu 2016, wano yali ku ddaala lya lieutenant colonel, yalondebwa okubeera omu ku ku banamaje ekkumi abaakiikirira amagye ga UPDF mu Palamenti ya Uganda (2016–2021). [5] Mu mwaka gwa 2019, bannamaje abasoba mu 2,000 mu ggye lya UPDF bakuzibwa era bwatyo Byekwaso nakuzibwa okutuuka ku ddaala erya brigadier general . Kino kyamufuula omukyala owookubiri mu bakyala abasinga okubeera ku maddaala agawaggulu mu maje ga UPDF, era nga eyali amusinga ye Lieutenant General Proscovia Nalweyiso. [6] [7] Okusinziira ku lupapula lwamawulire olwa Daily Monitor , Byekwaso era yaweerezako e Sudan mu kikwekeeto ekyokutebenkeza ekitundu ekye Darfur entekateeka eno yakulemberwa ekibiina kyamawanga amagatte wamu n'omukago ogutaba amawanga ku lukalu lwa Afirika eyatuumibwa United Nations–African Union Mission in Darfur. [5]

Obulamu obwabulijjo

Brigadier Flavia Byekwaso mufumbo.

Obuweereza mu byemizannyo

Flavia Byekwaso era amannyiddwa ne mu kisaawe ky'omupira ogwokubaka era nga yalondebwa okubeera omumyuka wa pulezidenti w'omuzannyo guno mu Uganda mu mwaka 2021.[8]Ono era yakolako nga akulira ekibiina ekitwalo omuzannyo guno mu Uganda.[9][10][11]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

Wikiwand in your browser!

Seamless Wikipedia browsing. On steroids.

Every time you click a link to Wikipedia, Wiktionary or Wikiquote in your browser's search results, it will show the modern Wikiwand interface.

Wikiwand extension is a five stars, simple, with minimum permission required to keep your browsing private, safe and transparent.