From Wikipedia, the free encyclopedia
Ettoffaali ky'ekintu ekisobola okugattibwa ku bintu ebirala n'ekigendererwa eky'okwongerawo enkyukakyuka n'enkulaakulana ey'awamu. Zisobola okuba essente oba ekintu ekiba kyetaagisa mu kutandikawo oba okumaliriza omulimu ogulabwako okugeza, omuzimbo; n'ebyo ebitalabwako okugeza, ettoffaali ly'amagezi — agayinza okuweebwa nga galunngamya enkola y'ebintu.
Ekigambo ekyo waggulu, kyaliwo era nga kyogerwa okuviira ddala ku mulembe gwa Kintu. Wabula okutandika okukozesebwa ennyo, gwali mwaka gwa 2013 oluvannyuma lw'okulondebwa kwa katikkiro aliko, Charles Peter Mayiga. Mu kiseera ekyo, amasiro g'e Kasubi gaali gamaze emyaka 3 nga gali ku ttaka olw'okusaanyizibwaawo nnabbambula w'omuliro mu 2010.[1]
Obwakabaka omuli abalangira n'abambejja, bwasigalanga bwewuunaganya ku butya bwe gayinza okuddizibwaawo. Mayiga bwe yalondebwa, yafuna ekirowoozo ky'okusonda ensimbi okuva mu bannansi bennyini okuzzaawo amasiro era n'atandikirawo okutalaaga amasaza ga Buganda gonna oluvannyuma lw'okuwayaamu ne beene, Ronald Muwenda Mutebi II.
Kijjukirwa nti waaliwo n'obwetaavu obulala mu kumaliriza ekizimbe ki Muganzirwazza n'okuyamba ku ntambuza y'emirimu ku mbuga enkulu mu Bulange, Mengo. Nga bw'egenda ewummuzibwaamu, kampeyini eno yakulungula emyaka 6, era Bannayuganda okuva e bunaayira, baasitukiramu okwegatta ku mulimu ettendo ogwali gugenda mu maaso.[2]
Si bokka, wabula ne gavumenti eyawakati, ensi nga Japan n'ebitongole eby'obwannakyewa,[3] nabyo byasalawo okubaako ne kye biwaayo. Okukakkana, obuwumbi bw'ensimbi za Yuganda 6 beddu,[4] bwakunngaanyizibwa. Wabula kisaana okutegeerekeka nti omulimu gwatambula okuva mu 2014, nga n'enkola y'ettoffaali bw'etambuzibwa obukwakku.
Ng'era buli kintu bwe kitayinza kutuusibwa ku kamalirizo awatali kusoomoozebwa, mu kukunngaanya ettoffaali mwalimu ebizibu nkuyanja nga n'ekyasinga obukulu kwe kuwakanyizibwa abamu ku bannyinikintu, Abaganda, abataakwasaganya ndowooza zaabwe kw'ebyo ebyali bigenda mu maaso.
Mu kwogerezeganya nabo, baagamba nti baasuubira nti kwali kubanyigiriza naddala mu by'enfuna olw'ensonga nti ezimu ku nsimbi zaali zigendereddwamu kwongera ku by'obugagga by'omutanda Mutebi II ng'omuntu.[5] Kino Mayiga yakkiriza obutuufu bwakyo wabula n'alambika obulungi obukirimu eri Obuganda.
N'ensonga endala etayinza kusuulibwa muguluka, kinogaanyizibwa nti ekitiibwa ky'obwa katikkiro ekyaliwo oluberyeberye, kyakakkanyizibwa olw'ekyo abandi kye baayita okusabiriza. Wakati mu kulwanyisibwa, Mayiga enfunda nnyingi yavangayo okulayira nga bwe yali tayinza kulekera kukunga bantu okujjumbira omulimu guno[6] okutuusa lwe gwakomekkerezebwa.
Oluvannyuma lw'akaseera (mu 2020), Mayiga yatongoza ekitabo kye yabbulira ddala mu kigambo ekyo, 'Ettoffaali', mwe yalambikira byonna ebyatuukibwaako[7] awamu n'okuyigiriza abakulembeze ku butya bwe bayinza okukola omulimu mw'abo ababakkiririzaamu okusobola okusenvula okuva mu kifo ekimu awatali kwesigamira ku bayinza okuba ebweru waabwe.
Seamless Wikipedia browsing. On steroids.
Every time you click a link to Wikipedia, Wiktionary or Wikiquote in your browser's search results, it will show the modern Wikiwand interface.
Wikiwand extension is a five stars, simple, with minimum permission required to keep your browsing private, safe and transparent.