From Wikipedia, the free encyclopedia
Armando Broja (yazaalibwa nga 10 Ogwomwenda 2001) muzannyi wa mupiira omutendeke azannya ng'omuteebi mu ttiimu ya Chelsea, eguzannyira mu liigi ya Bungereza eya babinywera. Yazaalibwa mu Bungereza era ng'akiikirira ttiimu y'eggwanga lya Albania.
Broja yatandika okuzannya omupiira ng'azannyira Burnham Juniors. Oluvannyuma yagenda mu kugezesebwa ku ttiimu Reading ne Fulham, nga tannassa mukono ku ndagaano ne ttiimu ya Tottenham Hotspur ne yeegatta ku ttiimu yaabwe ey'abazannyi abali wansi w'emyaka 8.[1] Oluvannyuma lw'emyaka ebiri nga ali ku Tottenham, Broja yeegatta ku akademe ya Chelsea mu mwaka 2009.
Nga 26 Ogwokubiri 2020, Broja yassa omukono ku ndagaano ye eyasooka ne ttiimu ya Chelsea ezannyira mu liigi ya Bungereza eya babinywera oluvannyuma lw'okutuuka ku kukkiriziganya ku ndagaano ya myaka ebiri. Nga 8 Ogwokusatu, yazannya omupiira gwe ogusooka ku ddaala ery'ekikugu mu mupiira gw'ewaka nga ttiimu ye ewangula Everton ku ggoolo 4-0 ewaka oluvannyuma lw'okuva ku katebe mu ddakiika 86 mu kifo kya Olivier Giroud.[2]
Nga 21 Ogwomunaana 2020, Broja yeegatta ku ttiimu ya Vitesse ku bweyazike okumala sizoni nnamba. Nga 19 Ogwomwenda yateeba ggoolo ye eya liigi eyasookera ddala mu mupiira gwe baakuba Sparta Rotterdam ggoolo 2-0. Broja yamaliriza ebbanga lye ery'obweyazike ku ttiimu ya Vitesse ng'omuzannyi asinze okubateebera ggoolo ennyingi mu liigi ya Eredivisie eya sizoni ya 202-21, ne ggoolo kkumi.
Nga 18 Ogwomusanvu 2021, Broja yassa omukono ku ndagaano empya ya myaka etaano ku ttiimu ya Chelsea. Nga 10 Ogwomunaana 2021 yaweerezebwa ku ttiimu ya Southampton (nga nayo omupiira eguzannyira mu liigi ya Bungereza eya babinywera) azannyireyo sizoni ya 2021-22. Mu mupiira gwe ogusooka yateeba ggoolo bbiri mu mupiira gwe baawangulira ku ggoolo 8-0 nga bakuba ttiimu ya Newport County ezannyira mu liigi ya Bungereza eyitibwa League Two mu luzannya olw'okubiri mu kikopo kya EFL. Nga 16 Ogwekkumi, Broja yateebera ttiimu ya Saints ggoolo ye aya liigi esooka nga bakuba Leeds United, era n'afuuka Omwalubaani eyasooka okuteeba ggoolo mu mpaka za liigi ya Bungereza ey'oku ntikko.
Nga 2 Ogwomwenda 2022, Broja yassa omukono ku ndagaano empya ey'ebbanga eggwanvu okutuuka mu mwaka gwa 2028 ku ttiimu ya Chelsea.
Nga 28 Ogwokutaano 2019, Broja yayitibwa ku ttiimu ya Albania U19 mu mipiira gy'omukwano ne Kosovo U19. Nga 3 Ogwomukaaga 2019, Broja yazannya omupiira gwe ogusooka ku ttiimu ya Albania mu mupiira gw'omukwano ogusooka ne Kosovo oluvannyuma lw'okuteekebwa ku lukalal lwa ttiimu etandika era n'ateebera ttiimu ye ggoolo ey'okusatu nga bwangulira ku bugenyi ku ggoolo 3-1.[3]
Nga 9 Ogwomukaaga 2019, Broja yazannya omupiira gwe ogusooka ku ttiimu ya Albania U21 mu mupiira gw'omukwano ne ttiimu ya Wales U21 oluvannyuma lw'okuva ku katebe mu ddakiika ya 46 ng'asikira Din Sula era n'ateeba ggoolo ebbiri ttiimu ye ze yateeba nga bwangulira ewaka ku ggoolo 2-1.[4]
Mu Gwokutaano 2019, Broja yayitibwa ku ttiimu ya Albania mu lusiisira lw'okutendekebwa mu Durrës, Albania okuva nga 21 okutuuka nga 26 Ogwokutaano 2019.
Nga 7 Ogwomwenda 2020 yazannya omupiira gwe ogusooka nga bakubwa Lithuania ku ggoolo 1-0. Nga 5 Ogwomwenda 2021, Broja yateeba ggoolo ye esooka ey'omupiira ogw'ekikugu mu mpaka z'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z'ekikopo ky'ensi yonna eza 2022 mu mupiira nga bazannya n'eggwanga lya Hungary, n'ayamba ttiimu ye okuwangulira ku ggoolo 1-0.
Broja yazaalibwa mu kibuga Slough ekisangibwa mu ggwanga lya Bungereza, eri abazadde Abaalubaani okuva mu Malësi e Madhe, mu Albania.
Template:Updated
Ttiimu | Sizoni | Liigi | National cup | League cup | Continenta | Omugatte | ||||||
---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
Division | Emipiira | Ggoolo | Emipiira | Ggoolo | Emipiira | Ggoolo | Emipiira | Ggoolo | Emipiira | Ggoolo | ||
Chelsea | 2019-20 | Premier League | 1 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 1 | 0 |
2022-23 | Premier League | 4 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 2 | 0 | 6 | 0 | |
Omugatte | 5 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 2 | 0 | 7 | 0 | ||
Ebbeeyi y'ebbeeyi | 2020- 21 | Eredivisie | 30 | 10 | 4 | 1 | — | — | 34 | 11 | ||
Southampton (bweyazike) | 2021- 22 | Premier League | 32 | 6 | 4 | 1 | 2 | 2 | — | 38 | 9 | |
Omugatte ogw'awamu | 67 | 16 | 8 | 2 | 2 | 2 | 2 | 0 | 79 | 20 |
Ttiimu y'eggwanga | Omwaka | Emipiira | Ggoolo |
---|---|---|---|
Albania | 2020 | 3 | 0 |
2021 | 7 | 3 | |
2022 | 4 | 1 | |
Omugatte | 14 | 4 |
Nedda. | Olunaku | Ekifo | Cap | Omulabe | Ebyavaamu | Ekivuddemu | Okuvuganya |
---|---|---|---|---|---|---|---|
1 | 5 Ogwomwenda 2021 | Elbasan Arena, Elbasan, Albania | 7 | Hungary | 1-0 | 1-0 | Empaka z'okusunsula abaneetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2022 |
2 | 8 Ogwomwenda 2021 | Elbasan Arena, Elbasan, Albania | 8 | San Marino | 3-0 | 5-0 | Empaka z'okusunsula abaneetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2022 |
3 | 9 Ogwekkumi 2021 | Puskás Aréna, Budapest, Hungary | 9 | Hungary | 1-0 | 1-0 | Empaka z'okusunsula abaneetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2022 |
4 | 10 Ogwomukaaga 2022 | Arena Kombëtare, Tirana, Albania | 13 | Israel | 1-0 | 1-2 | 2022-23 UEFA Nations League B |
Seamless Wikipedia browsing. On steroids.
Every time you click a link to Wikipedia, Wiktionary or Wikiquote in your browser's search results, it will show the modern Wikiwand interface.
Wikiwand extension is a five stars, simple, with minimum permission required to keep your browsing private, safe and transparent.