Ekirwadde kya Cholera

From Wikipedia, the free encyclopedia

Ekirwadde kya Cholera

Ekirwadde kya Cholera (Kkolera) abamu bakiyita Ekinyaga. Ekinyaga, ekimanyiddwa ennyo nga Kolera (Cholera), kirwadde ekikwata mu byenda nga kireetebwa obuwuka obuyitibwa Bacterium vibrio cholerae.[1]

Thumb
Adult cholera patient

Ekirwadde kino kigwa bugwi, era kirabikira mu bbanga eriri wakati w'ekitundu ky'olunaku n'ennaku ettaano nga kimaze okukwata omuntu. Ekirwadde kya Cholera kikosa bantu bokka; tekikwata bisolo birala, era omuntu afunye ekirwadde kino n'atajjanjabibwa, omubiri gwe guyinza okuvaamu liita z'amazzi eziri wakati w'ekkumi okutuuka kw'abiri (10-20) mu lunaku lumu! N'ekirala, singa Cholera ajja n'amaanyi ate n'atajjanjabwa ,asobola okutta abalwadde ebitundu ataano ku buli kikumi (50/100).

Obubonero bw'ekirwadde kya Cholera

  • Okuddukana obutasalako (embiro); kuno kumalamu omuntu amazzi mu mubiri mu kabanga katono nnyo era n'omubiri ne gunafuwa.
  • Okusesema n'okulumizibwa mu nnyingo z'omubiri.

Engeri Cholera gy'akwatamu

  • Okusookera ddala ekirwadde kino kisaasaanyizizibwa mu mazzi agatali mayonjo (amacaafu) era n'emmere enkyafu, naddala nga bikwataganyeeko n'obubi bw'omuntu mu mbeera yonna ate nga n’obubi obwo bulimu obuwuka bw’Ekinyaga.
  • Ebyokulya ebiva mu nnyanja/mu mazzi, agakwatiddwa obuwuka bwa Cholera, kyokka ne bitafumbibwa kuggya bulungi.
  • Singa ekiddukano oba ebisesemye by'oyo alwadde Ekinyaga bigenda mu mazzi ate abalamu (abatabulina) ne babikozesa, olwo nabwo bakwatibwa Ekinyaga.

Okwewala Ekinyaga

  • Okufumbira ddala ebyo byonna ebiyinza okuba nga byakwataganyeeko n'obubi bw'omulwadde oba byonna by'akozesezzaako, gamba ng'engoye ze, eby'oku buliri n'ebirala. Era engalo ezikutte ku mulwadde oba ebyo by'akozesa ziyina okutukuzibwa bulungi nga tukozesa eddagala eritta obuwuka obuleeta Ekinyaga gamba nga chlorine.
  • Okutabula eddagala eritta obuwuka bw’Ekinyaga mw'ebyo omulwadde by'afulumya, gamba nga by'asesemye ne by'addukanye, bireme kwegatta mu mazzi gonna yadde ago aga wansi mu ttaka.
  • Okulabula abantu, naddala awali oba awateeberezebwa nti waliwo amazzi agalimu obuwuka bw’Ekinyaga n'okubabuulira eky'okukola. Okugeza okufumba buli mazzi abantu abali mu kitundu ekyo ge bakozesa oba okuteekamu eddagala eritta obuwuka obwo bwe kiba kisoboka.
  • Okufumba amazzi oba okugassaamu eddagala eritta obuwuka. Okusinga ennyo amazzi ag’okunywa galina okwegenderezebwa.
  • Kisaana era okunaaba engalo ne ssabbuuni oba n'evvu ng'ovudde mu kaabuyonjo.
  • Okutwaliza awamu, ekirwadde ky’EKinyaga kisobolera ddala okwewalibwa kasita tuba nga tukanyizza obuyonjo ku buli kimu kye tukozesa.

Wikiwand in your browser!

Seamless Wikipedia browsing. On steroids.

Every time you click a link to Wikipedia, Wiktionary or Wikiquote in your browser's search results, it will show the modern Wikiwand interface.

Wikiwand extension is a five stars, simple, with minimum permission required to keep your browsing private, safe and transparent.